Psalms 92

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

1 aKirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 bokutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 cOkukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.

4 dKubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 eEmirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 fOmuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

8Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

9 gKubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 hNaye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 iAmaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

12 jAbatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 kEgisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 lNe mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 mkiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
Copyright information for LugEEEE